Joshua 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nabo ne bakola akakodyo: baagenda ne beesibirira entanda, ne bassa ku ndogoyi ensawo enkadde, n'endyanga ez'evviini nazo nga nkadde, nga ngyabirivu era ntungirire;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne basala amagezi ne bateekateeka emmere n’ebyokunywa ne babissa mu bisawosawo ebikadde ebitungiriretungirire ne babiteeka ku ndogoyi zaabwe, ne bambala ebigoye ebiyulifuyulifu
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne basala amagezi. Ne bagenda ne basiba ebyokulya. Ne bateeka ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'ensawo z'omwenge ez'amaliba enkadde ezikubiddwamu ebiraka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne basala amagezi, ne bagenda ne beefuula ng'ababaka, ne batwala ensawo enkadde ku ndogoyi zaabwe, n'amaliba ag'omwenge amakadde agaayulika agaatungirirwa;