Jude 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bo bano byonna bye batategeera bavuma bivume; naye ate ebyo bye bamanyi okusinziira mu butonde ng'ensolo ezitalina magezi bwe zibimanya, mwe bazikiririra.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kale abantu bano bavvoola kye batategeera, era okufaanana ng’ensolo obusolo bakola buli kye baagala, era ebyo bibaleetedde okuzikirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abo bye byonna bye batategeera babivvoola, era ebyo bye bamanyi mu ngeri y'obutonde, okufaanana ng'ensolo, bibaleetedde okuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abo, byonna bye batategeera babivuma; ate ebyo bye bategeera mu buwangwa bwabwe ng'ensolo ezitalina magezi, bye bibazikiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abo bye batamanya byonna babivuma: bye bamanya mu buzaaliranwa ng'ensolo ezitalina magezi mu ebyo bazikirira.