Jude 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zibasanze! Ekkubo bakutte lya Kayini; olw'okufuna empeera, bawondedde bunnambiro ensobi ya Balaamu, ne bazikiririra mu bujeemu bwa Kora.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zibasanze abo! Kubanga bagoberera ekkubo lya Kayini, era bakola buli kye basobola okufunamu ensimbi okufaanana nga Balamu, era ne bajeemera Katonda nga Koola bwe yakola, noolwekyo balizikirizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, olw'okwagala okufuna bakoze nga Balamu, bakuzikirira mu bujeemu nga Koola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Zibasanze, kubanga ekkubo bakutte lya Kayini. Olw'okwagala ebyokufuna, bagudde mu nsobi ya Balamu. Bajeemye nga Koora, ne bazikirira nga ye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, ne baddukanira mu kukyama kwa Balamu olw'empeera, ne babuulira mu kuwakana kwa Koola.