Jude 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bano bali nga mabala ku mbaga zammwe ez'okussa ekimu; bajja okulya nammwe awatali na kafansonyi, nga beefaako bokka. Bali ng'ebire omutali mazzi empewo by'ekuŋŋuusa; miti okutali bibala ku nkomerero y'omwaka, egifudde emirundi ebiri n'okusindulwa ne gisindulwa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bano bwe bajja ne babeegattamu nga muli ku mbaga zammwe ez’okumanyagana, baba ng’amabala amabi, nga tebatya, nga beefaako bokka, nga bali ng’ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; oba ng’emiti egiwaatudde, egitaliiko bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuulibwa n’emirandira;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo baba nga amabala amabi ku mbaga zammwe ez'okwagalana, nga tebatya kwerigomba, nga beefaako bokka, nga bali ng'ebire ebitaliimu mazzi ebitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa emirundi ebiri, egyakuuliibwa n'emirandira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Embaga zammwe mwe mulagira okwagalana, baziziyiza okugenda obulungi. Bo bajjirira kulya, nga tebakwatibwa na nsonyi okwefaako bokka. Bali ng'ebire ebitwalibwa embuyaga, ne bitavaamu nkuba. Bali ng'emiti egitaliiko bibala mu makungula, egifiiridde ddala, ne gisimbulwa n'emirandira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bano ge mayinja agatalabika mu mbaga zammwe ez'okwagalana bwe balya nammwe, abasumba abeerunda bokka awatali kutya; ebire ebitaliimu mazzi nga bitwalibwa empewo; emiti egiwaatula, egitalina bibala, egyafa awabiri, egyakuulibwa n'emmizi;