Jude 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enoki ow'olulyo olwomusanvu okuva ku Adamu abo be yayogerako nti: “Omukama wuuno azze n'enkumi n'enkumi z'abatuukirivu be,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enoka eyaliwo nga wayiseewo emirembe musanvu okuva ku Adamu, abantu bano yaboogerako eby’obunnabbi nti, “Mulabe Mukama ajja n’abatukuvu be abangi ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era abo Enoka, eyaliwo ku mulembe ogw'omusanvu okuva ku Adamu, yaboogerako nti, “Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakadde (1,000,000),
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Be bo Enoka ow'omusanvu okuva ku Adamu, be yayogerako bwe yalanga nti: “Laba, Mukama ajja n'enkumi n'enkumi z'abatukuvu be,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abo yabalagulako Enoki, ow'omusanvu okuva ku Adamu, ng'ayogera nti Laba, Mukama yajja n'abatukuvu be kakumi,