Jude 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
okujja okusalira omusango bonna, n'okuvunaana bonna abatatya Katonda olw'enneeyisa yaabwe yonna embi enkafiiri, n'olw'ebigambo byonna ebitasanyusa aboonoonyi abo ababi bye bamuvumyemu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alireeta abantu bonna mu maaso ge basalirwe omusango mu bwenkanya olw’ebikolwa byabwe bonna abatatya Katonda, bye baakola mu bugenderevu, n’olw’ebigambo byonna ebizibu abakozi b’ebibi bye bamwogeddeko eby’obutatya Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okusalira bonna omusango, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
okusalira abantu bonna omusango gusinge bonna abatatya Katonda, olwa byonna bye baakolera mu butamutya, n'olw'ebigambo byonna ebibi, aboonoonyi abatamutya bye baamwogerako.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
okuleeta omusango ku bonna, n'okusinza omusango bonna abatatya Katonda olw'ebikolwa byabwe byonna bye bakoledde mu butatya Katonda, n'olw'ebigambo byabwe byonna ebikakanyavu aboonoonyi abatatya Katonda bye bamwogeddeko.