Jude 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu abo batolooma, beemulugunya; bagoberera maddu gaabwe gokka, ba kamwa akoogera eby'okwewaana, abasuutasuuta abantu okubaako kye beefunira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beemulugunya, era bakola buli kye beegomba, era nga boogerera waggulu ebigambo eby’okweraga; era olaba bassizzaamu omuntu ekitiibwa ng’omanya nti balina kye bamwagalako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli, era aboogerera waggulu ebigambo eby'okwewaana, era olaba bassaamu abantu ekitiibwa nga balina kye babagalako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Be bo abatolotooma, abeemulugunya, era abagoberera okwegomba kwabwe okubi. Akamwa kaabwe koogera ebigambo eby'okwekulumbaza, era bawaanawaana abalala, olw'okwegasa bennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo be beemulugunya, be banyiiga, abatambula ng'okwegomba kwabwe bwe kuli (n'akamwa kaabwe koogera ebigambo ebiyinga okukulumbala), nga bassaamu abantu ekitiibwa olw'amagoba.