Jude 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bwe baabagamba nti: “Mu nnaku ez'oluvannyuma walijjayo abaduuze abagoberera amaddu gaabwe amakafiiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe baabagamba nti, “Mu nnaku ez’oluvannyuma walijjawo abantu abalibasekerera, nga beegomba nga bwe baagala, nga batambulira mu bitasiimibwa Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bwe baabagamba nti, “Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abantu abalibasekerera, nga batambulira mw'ebyo bye beegomba, era nga tebatya Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baabagamba mmwe nti: “Mu nnaku ez'oluvannyuma, walibaawo abasekerera abakkiriza, era abagoberera okwegomba kwabwe okubi, nga tebassaamu Katonda kitiibwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe baabagamba nti Mu biro eby'oluvannyuma walibaawo abasekerezi abatambula ng'okwegomba kwabwe bo bwe kuli okw'obutatya Katonda.