Jude 1:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abalala mubawonye mu muliro nga mubasikayo; abandi mubakwate na kisa, naye nga mutya, nga mukyayira ddala ekyambalo ekijamawaziddwa omubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’abalala mufubenga okubawonya nga mubakwakkula mu nnimi z’omuliro, n’abalala mubatuuse eri Mukama nga muyita mu kubalaga ekisa ng’aboonoonyi, wabula mukyawe ekyambalo, ekijjudde amabala agakiteekeddwako omubiri gwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalala mubawonye, nga mubasika mu muliro; n'abalala mubeegendereze mu kubakwatirwa ekisa, nga mukyawa n'ekyambalo ekyonooneddwa empisa embi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era abalala mubalokolenga, nga mubakwakkula okubaggya mu muliro; era abalala mubasaasirenga mu kutya; nga mukyawa ekyambalo omubiri kye gwasiiga amabala.