Jude 1:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri oyo asobola okubawonya okugwa, ate n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bbala era nga muli basanyufu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda asobola okubawanirira muleme okuva mu kkubo lye, era n’okubatuusa mu maaso ge ag’ekitiibwa nga temuliiko kamogo era nga mujjudde essanyu;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo ayinza okubakuuma ne mutagwa, n'okubatuusa w'ali mu kitiibwa kye nga temuliiko bbala, era nga musanyuka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyo ayinza okubakuuma obuteesittala, n'okubayimiriza mu maaso g'ekitiibwa kye nga temuliiko bulema mu kujaguza,