Jude 1:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eri Katonda yekka omulokozi waffe, mu Yezu Kristu Mukama waffe, ebeere ekitiibwa n'obukulu, n'okufuga, n'obuyinza emirembe gyonna nga teginnabaawo, na kaakano, na bulijjo. Amiina.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda oyo omu yekka atulokola okuyita mu Yesu Kristo Mukama waffe, agulumizibwe era atenderezebwenga olw’amaanyi ge n’obuyinza bwe, okuva ku mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu mirembe egitaliggwaawo! Amiina.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, okuva mu mirembe gyonna egyayita, ne kaakano era ne mu emirembe egitaliggwaawo. Amiina.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
oyo Katonda omu yekka, atulokola ng'ayita mu Yesu Kristo Mukama waffe, abe n'ekitiibwa, n'obukulu, n'obufuzi, n'obuyinza okuva edda n'edda, ne kaakano, n'emirembe gyonna. Amiina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda omu yekka Omulokozi waffe, ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe, aweebwenga ekitiibwa, obukulu, amaanyi n'obuyinza, edda n'edda ng'emirembe n'emirembe teginnabaawo, kaakano era n'emirembe egitaliggwaawo. Amiina.