Jude 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaagalwa, newandibadde nga nayagala nnyo okubawandiikira ku bifa ku kulokoka kwaffe ffenna kwe tugabana, naye mpaliriziddwa okubawandiikira mbakubirize okulwanirira n'obuvumu okukkiriza okwaweebwa abatuukirivu olumu nga lwe lwamala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaagalwa, nnali neesunga nnyo okubawandiikira ku bulokozi bwaffe bwe ntyo nawalirizibwa okubawandiikira nga mbazzaamu amaanyi nga mbegayirira mulwanirire okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira ku bulokozi bwaffe fenna, nnalaba nga nteekwa okubawandiikira nga mbakubiriza okulwanirira ennyo okukkiriza, abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaagalwa, bwe nali nga nfuba okubawandiikira ku kulokolebwa kwaffe ffenna, ne ndaba nga nteekwa okubawandiikira, nga mbakubiriza okulwanirira okukkiriza, abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu ne biggwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaagalwa, bwe nnali nga nfuba okubawandiikira eby'obulokozi bwaffe fenna, nnawalirizibwa okubawandiikira okubabuulirira okuwakaniranga ennyo okukkiriza abatukuvu kwe baaweebwa omulundi ogumu.