Jude 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga waliwo abantu abamu abeerimbise mu mmwe mu nkukutu, abo okuva edda abaalambibwa okusingibwa omusango; abatatya Katonda, eneema ya Katonda waffe abagifuula obugwagwa, ne bagaana ne Yezu Kristu, yekka Nnyinibuyinza era Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Waliwo abantu abajja mu bubba, abaawandiikwako edda nga baasalirwa omusango, abatatya Katonda abajerega ekisa kya Katonda waffe, ne bakiyisaamu amaaso, ne beegaana Yesu Kristo Mukama waffe, omu yekka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe, ne basinziira mu kyo okukola obukaba, ne beegaana Omukulu waffe omu yekka era Mukama waffe, Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kubanga abantu abamu abatatya Katonda bebbirira ne beetabika mu mmwe. Be bo abaayogerwako edda nga bwe balisalirwa omusango okubasinga. Be bantu abafuula ekisa kya Katonda ekyekwaso eky'okukolerako eby'obwenzi, ne beegaana Omufuzi waffe omu yekka, era Mukama waffe Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga waliwo abantu abayingira nga basensera abaawandiikirwa edda omusango guno, abatatya Katonda, abakyusa ekisa kya Katonda waffe okuba obukaba, ne beegaana Yesu Kristo, ye Mwami ye Mukama waffe omu yekka.