Jude 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Njagala okubajjukiza, newandibadde nga byonna mwabimanya, nti Omukama bwe yamala okununula eggwanga mu nsi y'e Misiri olumu n'amala, oluvannyuma bonna abatakkiriza yabazikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye njagala okubajjukiza nti newaakubadde nga byonna mubimanyi, nga olunaku lumu Mukama yalokola eggwanga n’aliggya mu nsi y’e Misiri, oluvannyuma n’azikiriza abatakkiriza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga mwali mwabitegezebwa dda, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde bino byonna mwabimanya dda, njagala okubajjukiza nti Mukama bwe yamala okuggya abantu be mu Misiri, oluvannyuma yazikiriza abo abatakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye njagala okubajjukiza, newakubadde nga byonna mwabimanya omulundi gumu, nga Mukama, bwe yamala okulokola abantu mu nsi y'e Misiri, oluvannyuma n'azikiriza abatakkiriza.