Jude 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe, ne baleka ebifo byabwe, yabasiba mu nzikiza mu njegere ez'emirembe gyonna, ng'abakuumira okulamulibwa ku lunaku luli olukulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bamalayika abataakuuma kitiibwa kyabwe ne badda mu kukola bye baayagala ne balekulira n’ebifo byabwe, abo Katonda yabasiba mu njegere n’abassa mu kkomera ery’ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe, ya basiba n'enjegere ez'ennaku zonna, n'abassa eri ekizikiza ekikutte gye balindiririra okusalirwa omusango ku lunaku olukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamalayika abaasukka obukulu bwabwe we bukoma, ne bava mu kifo kyabwe, mujjukire nti Katonda abakuumira mu kizikiza nga basibiddwa enjegere, ze batalivaamu ennaku zonna, okutuusa olunaku olukulu olw'okusalirako omusango lwe lulituuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamalayika abataakuuma bukulu bwabwe bo, naye ne baleka ekifo kyabwe bo bennyini, abakuumira mu njegere ez'ennaku zonna wansi w'ekizikiza olw'omusango ogw'oku lunaku olukulu.