Jude 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ngeri ye emu Sodoma ne Gomorra n'ebibuga ebyali byetooloddewo, nabyo ebyessa mu bugwagwa ne mu bukaba obutali bwa butonde, bituweereddwa ng'ekyokulabirako eky'abo abali ku kibonerezo eky'omu muliro ogw'emirembe gyonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temusaanye kwerabira bibuga ebya Sodomu ne Ggomola n’ebibuga ebyali bibiriraanye. Byonna byali bijjudde kwegomba okubi n’obwenzi, nga n’abasajja bakolaganako eby’ensonyi. Ebibuga ebyo byazikirizibwa n’omuliro, era byabonerezebwa n’omuliro ogutaggwaawo bibeere ekyokulabirako gye tuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyali bibiriraanye, nabyo bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikolanga eby'okwegomba okw'obuwemu, byafuuka kyakulabirako nga bibonerezebwa mu muliro ogutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu ngeri ye emu, ab'omu Sodoma ne Gomora, n'ebibuga ebirala ebyali biriraanyeewo, abaayenda, ne bakola ebitali bya buwangwa, baaweebwa ekibonerezo eky'omuliro ogutazikira, ne baba ekyokulabirako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga Sodomu ne Ggomola n'ebibuga ebyaliraanawo, bwe byayendera ddala okwenkana nabo ne bikyama okugobereranga omubiri omulala, byateekebwawo okuba ekyokulabirako, nga bibonerezebwa n'omusango ogw'omuliro ogutaggwaawo.