Jude 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu ngeri ye emu, na bano abali mu birooto baweebuula emibiri gyabwe, ne banyooma obukulu, ne bavuma ab'ebitiibwa ab'omu ggulu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ngeri y’emu abo abaloota bagwagwawaza omubiri, ate oludda ne banyooma obuyinza, ne bavvoola ne bamalayika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu ngeri y'emu abantu abo mu kulootaloota kwabwe boonoona omubiri gwabwe, bagaana obuyinza ne bavvoola ne bamalayika ab'ekitiibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bano nabo bwe bali. Balimbwalimbwa ebirooto byabwe, ne bamalamu emibiri gyabwe ekitiibwa, ne banyooma obuyinza bwa Katonda, era ne bavuma abeekitiibwa ab'omu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye era benkana nabo mu kulootaloota kwabwe nga basiiga omubiri empitambi era bagaana obukulu, era bavuma ab'ekitiibwa.