Jude 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso nga ne Mikayeli Ssaabamalayika, bwe yali yeezooba ne Sitaani ng'akaayana ku mubiri gwa Musa, teyaguma kumulamula mu ngeri yandimuvumye; yagamba bugambi nti: “Omukama akukomeko.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale newaakubadde nga Mikayiri, ye malayika asinga obukulu, naye bwe yali akaayana ne Setaani ku mulambo gwa Musa, teyamuvuma wabula yagamba bugambi nti, “Mukama akunenye!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olaba ne Mikaeri, malayika omukulu, bwe yali akaayana ne Setaani ku mubiri gwa Musa, teyayaŋŋaanga ku muvuma, naye yagamba nti, “ Mukama akunenye.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sso nga Mikayeli ssaabamalayika, bwe yali ayomba ne Sitaani, nga bakaayanira omubiri gwa Musa, teyaguma kumugamba bigambo bivuma ng'amusalira omusango, wabula yagamba nti: “Katonda akunenye!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Mikaeri, malayika omukulu, bwe yayomba ne Setaani n'ayogera naye olw'omubiri gwa Musa, teyayaŋŋanga kumuleetako musango gwa kuvuma, naye yagamba nti Mukama akunenye.