Judges 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kalebu n'agamba nti: “Omusajja anaawangula n'awamba Kiriyati-Seferi, nnaamuwa muwala wange Akusa abeere mukazi we.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Kalebu n’agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n’akiwamba ndimuwa muwala wange Akusa okumuwasa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omu ku basajja ba Yuda ayitibwa Kalebu n'agamba nti, “Oyo alirumba Kiriasuseferi n'akiwangula ndimuwa muwala wange Akusa n'amuwasa.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omu ku bo ayitibwa Kalebu n'agamba nti: “Anaalumba n'awamba ekibuga Kiriyati Seferi nja kumuwa muwala wange Akasa amuwase.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kalebu n'ayogera nti Oyo alitta Kiriasuseferi n'akimenya, ndimuwa Akusa muwala wange okumuwasa.