Judges 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omuwala n'amuddamu nti: “Ngirira ekisa. Nga bwe wampa ettaka mu Negevu, mpeerako n'enzizi z'amazzi.” Bw'atyo Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amuddamu nti, “Wampa ensi nkalu ey’obukiikaddyo naye kaakano nnyongera ekitundu ekirimu n’enzizi ez’amazzi.” Kalebu n’amuwa ekitundu ekirimu enzizi ekyengulu n’ekyemmanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akusa n'agamba nti, “Mpa ekirabo; olw'okuba wanteeka mu nsi ey'obukiikaddyo, ompe n'enzizi z'amazzi.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Akasa n'agamba nti: “Nnyamba ompe n'enzizi z'amazzi, kubanga ensi gy'ompadde nkalu.” Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Mpa omukisa; kubanga wanteeka mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, era, mpa n'enzizi ez'amazzi: Kalebu n'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.