Judges 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abazzukulu ba mukoddomi wa Musa Omukeni, baava mu Kibuga ky'Enkindu n'abantu ba Yuda ne bambuka mu ddungu lya Yuda mu Negevu, mu bitundu by'e Aradi, ne basenga eyo mu bantu baayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abazzukulu b’Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bava mu kibuga eky’enkindu ne bagendera wamu n’abasajja ba Yuda ne batuuka mu ddungu lya Yuda eryali mu bukiikaddyo obwa Aladi ne babeera wamu n’abantu baayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana b'Omukeeni, mukoddomi wa Musa ne bagenda n'ab'ekika kya Yuda nga bava e Yeriko ekibuga eky'enkindu, ne balaga mu nsi enkalu eri mu bukiikaddyo obwa Aladi mu Buyudaaya ne bagenda ne batuula n'abantu beeyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bazzukulu b'Omukeeni, kitaawe wa muka Musa, ne bagenda wamu n'ab'Ekika kya Yuda okuva e Yeriko, ekibuga ky'enkindu, ne balaga mu nsi enkalu, eri mu bukiikaddyo obwa Aradi mu Buyudaaya. Ne basenga mu Bamaleki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ab'Omukeeni, mukoddomi wa Musa, ne balinnya nga bava mu kibuga eky'enkindu awamu n'abaana ba Yuda ne bagenda mu lukoola lwa Yuda, oluli ku bukiika obwa ddyo obwa Aladi; ne bagenda ne batuula n'abantu.