Judges 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ab'ekika kya Yuda ne bagenda ne baganda baabwe ab'ekika kya Simewoni ne balumba Abakanaani ababeeranga mu Zefati, ne bakizikiririza ddala, era kwe kukiwa n'erinnya Koruma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yuda n’agenda ne muganda we Simyoni ne balumba Abakanani abaabeeranga e Zefasi, ne babazikiririza ddala era ne bakituuma erinnya Koluma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'omu kika kya Yuda ne bagenda ne baganda babwe ab'omu kika kya Simyoni, ne bawangula Abakanani abaali mu kibuga Zefasi, ne bakizikiririza ddala ne bakituuma erinnya Koluma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Yuda ne bagenda wamu n'ab'omu Kika kya Simyoni, ne bawangula Abakanaani abaali mu kibuga Zefati, ne bakizikiririza ddala, ne bakituuma erinnya Horuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Yuda n'agenda ne Simyoni muganda we, ne bakuba Abakanani abaatuula mu Zefasi, ne bakizikiririza ddala. N'erinnya ly'ebibuga lyayitibwa Koluma.