Judges 1:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama yali n'abasajja ba Yuda. Baawamba ensi ey'ensozi, kyokka mu nsenyi tebaasobola kugobamu batuuze baamu, kubanga baalina ebigaali eby'ebyuma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama yali wamu ne Yuda n’awangula abantu abaabeeranga mu nsozi okuggyako yalemwa okuwangula abantu abaabeeranga mu kiwonvu kubanga baalina amagaali ag’ekyuma.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama yali wamu n'abe kika kya Yuda ne bawangula abantu abaali mu nsi ey'ensozi, wabula ne batasobola kuwangula abantu abaatulanga mu bisenyi, kubanga abantu abo balina amagaali ag'ebyuma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Mukama n'abayamba ne bawamba ensi ey'ensozi. Naye ne batasobola kugobamu batuuze ab'omu bisenyi, kubanga abatuuze abo baalina amagaali ag'ebyuma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mukama yali wamu ne Yuda; n'agoba (abaatuula) mu nsi ey'ensozi; kubanga teyayinza kugoba abaatuula mu kiwonvu, kubanga baali balina amagaali ag'ekyuma.