Judges 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'addamu nti: “Yuda y'ajja okugenda. Ensi ngiwaddeyo mu mikono gye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’abaddamu nti Yuda yalisooka, era laba mbawadde obuwanguzi ku Bakanani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'addamu nti, “Ekika kya Yuda ky'ekinasooka okulumba; mbawadde okuwangula ensi eyo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'addamu nti “Ab'Ekika kya Yuda be baba basooka okugenda. Bo be mpadde okufuga ensi eyo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Yuda ye alirinnya: laba, ngabudde ensi mu mukono gwe.