Judges 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kalebu ne bamuwa Keburoni, nga Musa bwe yali agambye; yagobamu Abaanaki abasatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kebbulooni n’ekiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, n’akifuumulamu batabani ba Anaki abasatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Kalebu n'aweebwa Kebbulooni nga Musa bwe yalagira, n'agobamu abaana abasatu ab'Anaki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekibuga Heburooni ne kiweebwa Kalebu, nga Musa bwe yalagira, Kalebu n'agobamu ab'ebika ebisatu eby'abazzukulu ba Anaki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bawa Kalebu Kebbulooni, nga Musa bwe yayogera: n'agobera omwo abaana abasatu aba Anaki.