Judges 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye Ababenyamiini tebaasobola kugoba mu Yeruzaalemu Bayebusi abaakibeerangamu, bwe batyo Abayebusi bakyali n'abantu ba Benyamiini mu Yeruzaalemu n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abasajja ba Benyamini tebaagoba Bayebusi abaabeeranga mu Yerusaalemi noolwekyo Abayebusi babeera wamu n’abasajja ba Benyamini mu Yerusaalemi n’okutuusa kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ab'ekika kya Benyamini ne batagoba ba Yebusi ababeeranga mu Yerusaalemi; naye Abayebusi ne batuula wamu n'ab'ekika kya Benyamini mu Yerusaalemi n'okutuusa kaakano.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ab'Ekika kya Benyamiini ne batagoba Bayebusi mu Yerusaalemu. Okuva olwo Abayebusi ne bongera okukibeeramu awamu nabo n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abaana ba Benyamini ne batagoba Bayebusi abaatuula mu Yerusaalemi: naye Abayebusi ne batuula n'abaana ba Benyamini mu Yerusaalemi, ne leero.