Judges 1:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'abalagawo, ekibuga kyonna ne bakikuba n'ekitala, kyokka ye omusajja ne bamutaliza ko n'amaka ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe yabalaga awayingirirwa, ne bazikiriza n’ekitala abantu b’omu kibuga ekyo; ne batakola kabi konna ku musajja oyo n’ab’omu nnyumba ye bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abalaga we banaayingirira mu kibuga, era n'ebatta ab'omu kibuga bonna n'ekitala, okuggyako omusajja oyo n'ab'omu nnyumba ye yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abalagirira. Ne batta ab'omu kibuga bonna, okuggyako omusajja oyo n'ab'omu maka ge.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abalaga we banaayingirira mu kibuga, ne batta ekibuga n'ekitala; naye ne bata omusajja oyo n'ennyumba ye yonna.