Judges 1:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omusajja n'asengukira mu nsi y'Abakitti, n'azimbayo ekibuga, n'akituuma Luzi, erinnya lye kikyayitibwa n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omusajja oyo n’asengukira mu nsi y’Abakiiti, n’azimbayo n’ekibuga n’akituuma Luzi, n’okutuusa kaakano bwe kiyitibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omusajja oyo n'agenda mu nsi ey'Abakiiti, n'azimbayo ekibuga, n'akituuma erinnya Luzi, eryo lye linnya lyakyo ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusajja oyo n'agenda mu nsi y'Abahiiti n'azimbayo ekibuga, n'akituuma erinnya Luuzi. Era kikyayitibwa erinnya eryo n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omusajja oyo n'agenda mu nsi ey'Abakiiti, n'azimba ekibuga, n'akituuma erinnya lyakyo Luzi: lye linnya lyakyo ne leero.