Judges 1:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Manasse teyasobola kugobawo baali babeera mu Beti-Sewani n'ebibuga byakyo, mu Taanaki n'ebibuga byakyo, mu Dori n'ebibuga byakyo, mu Yibulewamu n'ebibuga byakyo ne mu Megiddo n'ebibuga byakyo, kubanga Abakanaani baamalirira okusigala mu nsi eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye Manase teyagoba bantu abaabeeranga mu Besuseani, ne mu Taanaki ne mu Poliyadde abaabeeranga mu Ibuleamu, ne mu Megiddo, n’ebyalo ebiriraanye ebibuga ebyo. Naye Abakanani ne bagaanira ddala okuva mu nsi eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Manase tebagoba bantu abaatuula mu Besuseani n'ebyalo byakyo, wadde ab'omu Taanaki n'ebyalo byakyo, oba ab'e Doli n'ebyalo byakyo, wamu n'ab'e Ibuleamu ne byalo byakyo, n'ab'omu Megiddo ne byalo byakyo; naye Abakanani ne beeyongera okubeera mu nsi eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Manasse tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Beti Seyani ne Taanaki, ne Doori, ne Yibuleyani, ne Megiddo, n'ab'omu byalo ebibiriraanye, Abakanaani ne bongera okubeera mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Manase n'atagoba (abaatuula) mu Besuseani n'ebyalo byakyo, ne mu Taanaki n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Doli n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Ibuleamu n'ebyalo byakyo, newakubadde abaatuula mu Megiddo n'ebyalo byakyo: naye Abakanani ne baagala okutuula mu nsi eyo: