Judges 1:29 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Efurayimu teyasobola kugoba Bakanaani mu Gezeri, bwe batyo Abakanaani bakyabeera wamu nabo mu Gezeri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne Efulayimu teyagoba Bakanani naye yabakkiriza okubeera awamu naye mu Gezeri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Efulayimu ne batagoba ba Kanani abaatuulanga mu Gezeri; naye Abakanani ne beeyongera okubeera mu Gezeri wamu nabo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Efurayimu tebaagobamu Bakanaani abaali mu kibuga Gezeri, Abakanaani ne bongera okubeeramu wamu nabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu n'atagoba Bakanani abaatuula mu Gezeri; naye Abakanani ne batuula mu Gezeri wakati mu bo: