Judges 1:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Zebuluni teyasobola kugobawo baali babeera mu Kituroni, oba abantu b'e Nawalali, wabula Abakanaani baasigala mu bo, kyokka nga bakola emirimu gy'akasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne Zebbulooni teyagoba abantu abaabeeranga mu Kitulooni yadde abaabeeranga mu Nakaloli, naye Abakanani bano n’abakkiriza okubeeranga awamu naye nga bwe bamusasula omusolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Zebbulooni ne batagoba bantu abaatuulanga mu Kituloni, ne Nakaloli; naye Abakanani ne batuula wamu nabo, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Zebbulooni tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Kituroni ne Nakalali, Abakanaani ne bongera okubibeeramu awamu nabo, ne bawalirizibwa okukoleranga Abayisirayeli emirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Zebbulooni n'atagoba abaatuula mu Kituloni, newakubadde abaatuula mu Nakaloli; naye Abakanani ne batuula mu bo; ne bafuuka ab'okuwanga omusolo.