Judges 1:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aseeri naye teyasobola kugobawo abaabeeranga mu Akko, mu Sidoni, mu Akulabu, mu Akuzibu, mu Afeki ne mu Rekobu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Aseri teyagoba bantu abaabeeranga mu Akko yadde ab’omu Sidoni n’ab’omu Alaba n’ab’omu Akuzibu n’ab’omu Keruba n’ab’omu Afiki yadde ab’omu Lekobu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Aseri ne batagoba bantu abaatuulanga mu bibuga: Akko, Sidoni, Alabu, Akuzibu, Keruba, Afiki ne Lekobu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Aseri tebaagobamu batuuze ba mu bibuga Akko ne Sidoni, ne Alabu ne Akuzibu, wadde ab'omu Eluba ne Afeki ne Rehobu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aseri n'atagoba abaatuula mu Akko, newakubadde abaatuula mu Sidoni; newakubadde mu Alabu, newakubadde mu Akuzibu; newakubadde mu Keruba, newakubadde mu Affiki newakubadde mu Lekobu: