Judges 1:33 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nafutali naye teyasobola kugobawo baali babeera mu Beti-Semesi ne mu Beti-Anati, naye n'asenga mu Bakanaani abaabeeranga mu nsi eyo. Bo abaabeeranga mu Beti-Semesi ne mu Beti-Anati baabakoleranga emirimu gy'akasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nafutaali teyagoba bantu abaabeeranga mu Besusemesi ne mu Besuanasi naye n’abakkirizanga okubeeranga awamu n’abantu be nga bwe bamusasula omusolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ab'ekika kya Nafutaali ne batagoba bantu abaatuulanga mu Besusemesi, wadde abaatuulanga mu Besuanasi; naye ne batuula wamu n'Abakanani abaali bannannyini nsi; kyokka abaatuulanga mu Besusemesi ne Besuanasi ne babawalirizibwa Abaisiraeri okubakoleranga emirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Kika kya Nafutaali ne batagobaamu batuuze ba mu bibuga Beti-Semani ne Beti-Anati. Ab'omu Kika kya Nafutaali ne bongera okubeera awamu n'abatuuze Abakanaani naye ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nafutaali n'atagoba abaatuula mu Besusemesi, newakubadde abaatuula mu Besuanasi; naye n'atuula mu Bakanani, be baatuula mu nsi: era naye abaatuula mu Besusemesi ne mu Besuanasi ne bafuuka ab'okuwanga omusolo.