Judges 1:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo Abaamori baagobera Abadaani mu nsozi, tebaabaganya kukka mu nsenyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bo abasajja ba Ddaani tebaasobola kuwamba nsi y’Abamoli ey’omu kiwonvu era Abamoli ne babafuumuula ne baabazaayo mu nsozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamoli baasindiikiriza ab'omu kika kya Ddaani ne babazzaayo mu nsi ey'ensozi, ne batabakkiriza kukka mu lusenyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaamori baasindiikiriza ab'omu Kika kya Daani ne babazzaayo mu nsi ey'ensozi, ne batabakkiriza kukka mu lusenyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abamoli ne bagobera abaana ba Ddaani mu nsi ey'ensozi: kubanga tebaabaganya kuserengeta mu kiwonvu: