Judges 1:35 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Abaamori baamalirira okusigala mu Lusozi Eresi, mu Ayijaloni ne mu Saalubimu. Kyokka ennyumba ya Yozefu bwe yeeyongera amaanyi, ne babassa ku kasanvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde Abamoli baalwanirira nnyo okubeera ku lusozi Keresi, mu Ayalooni ne Saalubimu naye ab’omu kika kya Yusufu ne babafufuggaza era ne babawaliriza okubawanga omusolo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abamoli ne bongera okubeera mu Ayalooni, ne mu Saalubimu ne ku lusozi Eresi. Naye ab'omu kika kya Efulayimu n'ab'omu kika kya Manase ne babasinza amaanyi, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaamori ne bongera okubeera mu Ayiyalooni, ne mu Saalubini, ne ku lusozi Eresi. Naye ab'omu Kika kya Efurayimu n'ab'omu Kika kya Manasse ne babakinako, ne babawaliriza okubakoleranga emirimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye Abamoli baayagala okutuula ku lusozi Keresi, mu Ayalooni, ne mu Saalubimu: naye omukono gw'ennyumba ya Yusufu ne gusinga, n'okufuuka ne bafuuka ab'okuwanga omusolo