Judges 1:36 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensalo z'Abaamori zaavanga ku kasozi k'e Akurabbimu ne zituuka e Sela ate ne zeeyongerayo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensalo y’Abamoli yayitanga awo ng’oyambuka Akulabbimu n’okweyongerayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva mu bukiikaddyo obwa Seera, ensalo y'Abamoli yayitiranga mu ntikko ya Akulabbimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva mu bukiikaddyo obwa Seela, ensalo y'Abaamori yayitiranga mu ntikko ya Akurabbimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ensalo ey'Abamoli yava awayambukirwa Akulabbimu, okuva ku lwazi, n'e ngulu.