Judges 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yuda bwe yalumba, Omukama n'amuwa Abakanaani n'Abaperizzi mu mikono gyabwe, ne babattamu abasajja omutwalo gumu e Bezeki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yuda n’alumba Abakanani n’Abaperezi e Bezeki era Mukama n’amuwa obuwanguzi n’abattamu abasajja omutwalo mulamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yuda n'alumba Abakanani n'Abaperizi, Mukama n'abawa okubawangulira mu Bezeki ne babattamu abasajja omutwalo gumu (10,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'ab'ekya Yuda ne bagendera wamu mu lutalo. Mukama n'abawa okuwangula Abakanaani n'Abaperizi, ne babattamu abasajja omutwalo gumu e Bezeki.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yuda n'alinnya; Mukama n'agabula Abakanani n'Abaperizi mu mukono gwabwe: ne babattiramu mu Bezeki`abasajja kakumi.