Judges 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Adoni-Bezeki n'agamba nti: “Bakabaka nsanvu abaali batemeddwako kyalakisajja n'ebigere ebisajja baalondalondanga obukunkumuka wansi w'emmeeza yange; nange Omukama ankoze kye nabakola.” Ne bamuleeta mu Yeruzaalemu n'afiira eyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Adonibezeki ne yejjusa n’agamba nti, “Nga bakabaka ensanvu abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n’ebigere ebisajja, bwe baalondalondanga obukunkumuka wansi w’emmeeza yange, nange bwe ŋŋenda okuba. Kye nakola bannange Katonda nange akintusizzaako.” Ne bamutwala e Yerusaalemi n’afiira eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Adonibezeki n'agamba nti, “Bakabaka ensanvu (70) be nnatemako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja, baakuŋŋaanyanga obukunkumuka bw'emmere wansi w'emmeeza yange. Kaakano Katonda ansansudde ekyo kye nnabakola.” Ne bamutwala e Yerusaalemi, era eyo gye yafiira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Adonibezeki n'agamba nti: “Bakabaka ensanvu be natemako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja baakuŋŋaanyanga obukunkumuka bw'emmere wansi w'emmeeza yange. Kaakano Katonda ansasudde ekyo kye nabakola.” Ne bamutwala e Yerusaalemu, era eyo gye yafiira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Edonibezeki n'ayogera nti Bakabaka ensanvu, abaasalibwako engalo zaabwe ensajja n'ebigere byabwe ebisajja, baakuŋŋaanyizanga (emmere yaabwe) wansi w'emmeeza yange: nga nze bwe nnaakola, ne Katonda bw'ampalanye bw'atyo. Ne bamuleeta e Yerusaalemi, n'afiira eyo.