Judges 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma abantu ba Yuda ne bakkirira okulwanyisa Abakanaani abaabeeranga mu nsi ey'ensozi, ne mu Negevu ne mu Sefela.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abasajja ba Yuda ne balumba Abakanani abaabeeranga mu nsozi ne mu biwonvu ne mu bukiika obwa ddyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baava awo ne balumba Abakanani ab'omu nsi ey'ensozi, ne mu bisenyi, ne mu nsi enkalu ey'omu bukiikaddyo ne babalwanyisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baava awo ne bagenda okulwanyisa Abakanaani ab'omu nsi ey'ensozi, ne mu bisenyi ne mu nsi enkalu ey'omu bukiikaddyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baamala, abaana ba Yuda ne baserengeta okulwanyisa Abakanani abaatuula mu nsi ey'ensozi, ne mu bukiika obwa ddyo, ne mu nsi ey'olusenyi.