Judges 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abimeleki ng'avuddewo, ne wasitukawo Tola okuwonya Yisirayeli. Yali musajja wa mu Yissakari, mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo. Yabeeranga Samiri mu nsozi za Efurayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo oluvannyuma lwa Abimereki, ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, era muzzukulu wa Dodo, omusajja wa Isakaali eyajja okulokola Isirayiri, eyabeeranga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Abimereki bweyamala okufa, Tola mutabani wa Puwa muzzukulu wa Dodo, ow'omukika kya Isakaali n'agolokoka okulokola Isiraeri; yabeera nga mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abimeleki bwe yamala okufa, Tola mutabani wa Puwa era muzzukulu wa Dodo, n'ajja okununula Yisirayeli. Yali wa mu Kika kya Yissakaari, ng'abeera mu Samiri mu nsi ya Efurayimu ey'ensozi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo oluvannyuma lwa Abimereki ne wabaawo Toola mutabani wa Puwa, mutabani wa Dodo, omusajja wa Isakaali, okulokola Isiraeri; n'abeera mu Samiri mu nsi ya Efulayimu ey'ensozi.