Judges 10:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abasidoni, Abaamaleki, n'Abamawoni bwe baabalabya ennaku ne mulaajanira gye ndi, saabasikaayo mu mikono gyabwe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’Abasidoni, n’Abamaleki, n’Abamawoni, bwe baabanyigiriza ne munkowoola, sabalokola okuva mu mukono gwabwe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Abasidoni, Abamaleki n'Abamoni bwe baabajooga, ne munkaabira ne mbalokola mu mukono gwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'Abasidoni, n'Abamaleki n'Abamawoni baababonyaabonya mmwe, ne munkaabirira, ne mbabawonya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ne Basidoni n'Abamaleki n'Abamawoni baabajooga; ne munkaabira ne mbalokola mu mukono gwabwe.