Judges 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye era mwandekawo, ne musinza balubaale. Nange nno sijja kuddayo kubawonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala, noolwekyo sigenda kubalokola nate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala; kyennava nnema okubalokola nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mwanvaako ne muweereza balubaale, kyenva ŋŋaana okuddamu okubanunula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala: kyenva nnema okugenda okubalokola nate.