Judges 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mugende, mulaajanire balubaale be mwerondedde, babadduukirire mu biseera byammwe eby'ennaku.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mugende mukaabire bakatonda abo be mwasalawo okuweereza, babalokole mu nnaku yammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mugende mukaabire bakatonda be mwalonda; bo babalokolenga mu biro eby'okunakuwala kwammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugende mukaabirire balubaale mu bizibu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mugende mukaabire bakatonda be mwalonda; bo babalokolenga mu biro eby'okunakuwala kwammwe.