Judges 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abayisirayeli ne bagamba Omukama nti: “Twayonoona. Tuyise nga ggwe bw'oyagala; naye olwa leero, tukwegayiridde tuwonye.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abaana ba Isirayiri ne bagamba Mukama Katonda nti, “Twayonoona. Tukole kyonna ky’onoolaba nga kye kitusaanira. Kyokka tulokole kaakano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abaana ba Isiraeri ne bagamba Mukama nti, “Twayonoona; tukole kyonna ky'onoolaba nga kirungi, kyokka tuwonye leero, tukwegayiridde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Abayisirayeli ne bagamba Mukama nti: “Twayonoona. Tukoleko kyonna ky'onoolaba nga kisaana, naye tukwegayiridde tununule.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abaana ba Isiraeri ne bagamba Mukama nti Twayonoona: tukole kyonna ky'onoolaba nga kirungi: kyokka tuwonye leero, tukwegayiridde.