Judges 10:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ne basuula eri ebifaananyi byonna ebya balubaale abagwira, ne baweereza Omukama. N'Omukama naye nga takyasobola kugumiikiriza nnaku ya Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne baggya wakati mu bo bakatonda abalala, ne baweereza Mukama Katonda. Mukama n’alumwa olw’ennaku ya Isirayiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne beggyako bakatonda abalala be baweerezanga; Omwoyo gwa Mukama ne gumuluma olw'okubonaabona kw'abaana ba Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne beggyako balubaale abagwira, ne baweereza Mukama. N'alumwa omwoyo olw'okubonaabona kwa Yisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne baggya mu bo bakatonda abaggya ne baweereza Mukama: omwoyo gwe ne gumuluma olw'ennaku za Isiraeri.