Judges 10:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abakulembeze mu Gileyaadi ne bagambagana nti: “Oyo anaasooka okulwanyisa Abammoni, oyo y'anaabeera omufuzi w'abantu b'omu Gileyaadi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abakulembeze b’abantu mu Gireyaadi ne bagambagana nti, “Omusajja anaasooka okulumba abaana ba Amoni, ye anaabeera omukulembeze w’abatuuze b’omu Gireyaadi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti, “Ani anaakulembera olutalo okulwanyisa abaana ba Amoni? Oyo y'anaafuga Gireyaadi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abakulu ab'e Gileyaadi ne beebuuzaganya nti: “Ani anaakulembera olutalo lw'okulwanyisa Abammoni? Oyo ye aliba omukulembeze wa bonna mu Gileyaadi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu, abakulu ab'e Gireyaadi, ne bagambagana nti Omusajja aluwa alisooka okulwanyisa abaana ba Amoni? oyo ye aliba omukulu w'abo bonna abatuula mu Gireyaadi.