Judges 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'avuddewo, waasitukawo Yayiri Omugileyaadi. Yalamula Yisirayeli okumala emyaka abiri mu ebiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi, eyakulembera Isirayiri okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oluvannyuma lwa Tola newaddawo Yayiri Omugireyaadi; n'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu ebiri (22).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tola bwe yavaawo, ne waddawo Yayiri, eyava e Gileyaadi. N'akulembera Yisirayeli okumala emyaka amakumi abiri mu ebiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oluvannyuma lw'oyo ne wabaawo Yayiri Omugireyaadi; n'alamulira Isiraeri emyaka abiri mu ebiri.