Judges 10:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yalina batabani be makumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu. Baalina ebibuga amakumi asatu mu Gileyaadi, n'okutuusa ku lunaku lwa leero ebiyitibwa Kavvoti-Yayiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yalina abaana aboobulenzi amakumi asatu abeebagalanga endogoyi amakumi asatu, era baafuganga ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gireyaadi ebiyitibwa Kavosu Yayiri n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era yalina batabani be asatu (30), abeebagalanga abaana b'endogoyi asatu (30), nabo baalina ebibuga asatu (30), bye bayita Kavosuyayiri okutuusa leero, ebiri mu nsi ya Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yalina batabani be amakumi asatu, abeebagalanga endogoyi amakumi asatu. Baalina ebibuga amakumi asatu, mu nsi ya Gileyaadi, ebikyayitibwa Ebyalo bya Yayiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era yalina batabani be asatu, abeebagalanga abaana b'endogoyi asatu, nabo baalina ebibuga asatu, bye bayita Kavosuyayiri okutuusa leero, ebiri mu nsi ya Gireyaadi.