Judges 10:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusungu bw'Omukama ne bweserera ku Yisirayeli, n'abawaayo mu mikono gy'Abafilisitiini n'egy'Abammoni,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda n’anyiigira Isirayiri, n’abagabula mu mukono gw’Abafirisuuti ne mu mukono gw’abaana ba Amoni,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abagabula mu mukono gw'Abafirisuuti n'ogw'Abamoni ne babafuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'asunguwalira Abayisirayeli, n'aleka Abafilistiya n'Abammoni okubawangula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obusungu bwa Mukama ne bubuubuuka ku Isiraeri, n'abatunda mu mukono gw'Abafirisuuti, ne mu mukono gw'abaana ba Amoni.