Judges 10:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abaababetenta ne babamerengula omwaka ogwo. Ate ne banyigiriza Abayisirayeli abaali emitala wa Yorudani mu nsi y'Abaamori mu Gileyaadi okumala emyaka kkumi na munaana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abaanyigiriza abaana ba Isirayiri, era ne babajooga okumala emyaka kkumi na munaana. Baanyigiriza abaana ba Isirayiri bonna abaali emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba mu nsi y’Abamoli eri mu Gireyaadi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwaka ogwo ne banyigiriza era ne bajooga abaana ba Isiraeri, ne baajoogera abaana ba Isiraeri emyaka kkumi na munaana (18), bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okumala emyaka kkumi na munaana, ne banyigiriza era ne bayigganya Abayisirayeli bonna abaali emitala w'omugga Yorudaani, mu nsi y'Abaamori, eri mu Gileyaadi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne beeraliikiriza ne bajooga abaana ba Isiraeri omwaka ogwo: (baajoogera) emyaka kkumi na munaana abaana ba Isiraeri bonna abaali emitala wa Yoludaani mu nsi y'Abamoli eri mu Gireyaadi.